Psalms 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 aKatonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 bKyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 camazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

4 dWaliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 eTekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 fAmawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

7 g Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

8 hMujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 iY’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 jMusiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Copyright information for LugEEEE